Return to Index

166

167

YESU ggwe-eyanjagala

168
SongInstrumental
	

YESU,ggwe-eyanjagala Ka nzirukire gy'oli, Amayengo-ag'ennaku Nga gankubira ddala; Nkweka mu mikono gyo Abannumba ba maanyi, Sirina magezi nze, Kkiriza-omwoyo gwange. Tewali kiddukiro Wabula mu mwoyoy gwo; Tondeka nga nteetera Nnaatera kugwa bugwi. Essanyu lyange lyonna Ndiggya mu kubeerwa kwo, -Onsenseze-omutwe gwange Wansi w'emikono gyo. Ggwe wekka gwe neetaaga, Tewali akwenkana; Agudde-omuyimuse, Vumula azirise; Omulwadde-omuwonnye, Zibula-eyazibwa Nze njijudde ekibi, Ggwe-oli Butuukirivu. Gye ndi yaza-ekisa kyo Sangula-ebibi byange, Nnina-ennyota-,ondeetere, Amazzi agamponya-ennyo; Ggwe-oli nsulo z'obulamu Ka nsene omwo mwokka, -Omwoyo gwange gujjule Amazzi-ag'obulamu.