Return to Index

167

168

YESU alifuga wonna

169
SongInstrumental
	

YESU alifuga wonna, Wonna-omusana we gwaka; -Obwakabaka bwe bulibuna -Okutuusa ennaku zonna. Abantu b'ennimi zonna Batendenga-okwagala kwe; Abaana banaabuuliranga, Obulungi bw'erinnya lye. Omukisa gwebwe guli -Abasibe bafuna-eddembe; -Abakooye banaawummulanga, Abeetaaga ne bakkuta. Buli muntu-ayimirire Atende nnyo Kabaka we, Bamalayika ne bayimba, Ensi n'eddamu Amiina.