168 |
169NEEGOMBA nnyo-okuwulira |
170 |
Song | Instrumental |
NEEGOMBA nnyo-okuwulira Ku linnya lya Yesu; Tewali na limu ku nsi Eririfaanana. Lintegeeza-Omulokozi Bwe yafa ku lwange, Era-okufa kwe-okw'ensonyi Kwanfuula-ow'eddembe. Erinnya-eryo linsanyusa Mu biro-eby'ennaku; Era bwe mba nga nkooye nnyo Linzizaamu-amaanyi. Ka nnyimbenga nnyo n'essanyu: Awamu n'essubi; Kubanga Yesu yamgamba, Nti nkomawo mangu.