Return to Index
170 |
171
OMUSUMBA wange Mukama
|
172 |
Song | Instrumental |
|
|
-OMUSUMBA wange Mukama,
-Obulungi bwe tebuggwawo-
Seetaagenga nga ndi wuwe,
Naye nga wange bulijjo.
Antwala ye ku mabbali
Ag'amazzi-amateefu;
Mu ddundiro eddungi-ennyo
Eyo gy'anaadiisizaanga.
Edda nali nga mpabye nnyo,
N'annoonya lwa kisa kye,
N'anteeka mu mikono gye,
N'antwala-ewuwe n'essanyu.
Mu kiwonvu eky'okufa
Siritya-akabi konna;
Omuggo gwe n'oluga lwe,
Ebyo bye birinsanyusa.
Ansembeza ku mmeeza ye,
Ne nnywa ku kikompe kye;
Era-ansiga-amafuta ge,
N'ampa-emikisa gye gyonna.
Bwe butyo obulungi bwo,
Mukama tebuliggwaawo;
Nnakwebazanga bulijjo,
Ggwe oli-omusumba