Return to Index
172 |
173
OMUZIRA waffe Omwana w'omuntu
|
174 |
Song | Instrumental |
|
|
OMUZIRA waffe,Omwana w'omuntu
Abazira bonna ab'ensi babo:
Twewaayo gy'oli nga ssaddaaka ennamu,
Gwe oli wamu naffe mu byonna.
Wakwatanga ekkubo eryalagirwa,
-Ebigambo byo bya mazima ddala,
-Obulungi bw'ebimuli bwakusanyusa,
Omwoyo gw'abato wagutegeeranga.
Wayimusanga emyoyo gy'abavubuka;
Abantu bonna wabaweereza;
Newakubadde ggwe oli Kabaka wawu,
Naye oli kiddukiro kyaffe.
Tweyunenga ggwe mu nnaku zaffe zonna,
Era n'essanyu litwagaze ggwe,
Oba mugagga,Sseekimu mu ssanyu lye,
Omwavu,agume ku lw'omukwano gwo.