Return to Index

173

174

YESU ggwe-oli ssanyu lyaffe

175
SongInstrumental
	

YESU,ggwe-oli ssanyu lyaffe, Ggwe-oli musana gw'obulamu; Twaleka-eby'omu nsi muno, Ne tusanyukira mu ggwe. -Amazima go gabeerera, Olokola-abakwesiga, Abakunoonya beesiima, Abakulaba bakkuta. Tulya ku mmere y'obulamu-, Twettanira-okuliisibwa; Tunywa ne ku musaayi gwo, Gutuwonya-ennyonta yaffe. Wonna tukyukira gyoli, Ggwe-oli Kiwummulo kyaffe; Bw'otusiima,tusanyuka, Bw'obeera naffe tulama Jangu-otubeesebeese ffe, Tuleme-okubulubuuta, Goba-ekizikiza-eky'ensi Otwakize amaaso go.