Return to Index

174

175

YESU ssanyu lyange

176
SongInstrumental
	

YESU,ssanyu lyange Ddundiro ly'omwoyo Ka nkusinze ggwe! Ennaku z'omwoyo Ze zimpaliriza Ndi wuwo naawe wange, Nkwagala-okusinga bonna Ggwe Mukama wange! Olw'okukuuma kwo Abalabe bange Banafu gyendi; Ssetaani bw'annumba, Nsaba-ompe amaanyi, Tombeera wala! Neetoolooleddwa-obubi N'okufa kwa ntiisa, naye Yesu ggwe onkuuma. Ka tugonze-emyoyo, Ka tumuwe-ekifo Omusanyusa. Yesu k'atufuge, Tumuwulirenga, Tujjule-essanyu Mu buyinike bwonna: Atuwenga-essanyu lino, Okubeera naffe.