Return to Index
175 |
176
OLWAZI lw'edda n'edda gwe
|
177 |
Song | Instrumental |
|
|
-OLWAZI lw'edda n'edda gwe,
Olwanjatikira nze;
Omwo mwe neekweka-,era
Omusaayi gwe mwe gwava.
Ebibi binzigyeko,
Mponya mu maanyi gaabyo.
Emirimu gy'engalo
N'okufuba kw'omwoyo
N'amaziga agajja-ennyo
Emisana n'ekiro;
Byonna tebiggyawo bibi;
Ggwe wekka Mulokozi.
Sirina nze bulungi
Nkwesize ggwe bwesizi;
Omwereere nnyambaza;
Omunaku mpa-ekisa;
Laba bwe ndi omubi,
Nnaaza Yesu,nfa bufi.
Nze nga nkyali mulamu,
Bwe ndituuka mu ggulu;
Bwe nidiraba ggwe,Yesu,
Emisango ng'osala,
Yesu-olwasi olwase,
Ka neekwekenga mu ggwe.