Return to Index

176

177

YESU Mulokozi wange

178
SongInstrumental
	

YESU Mulokozi wange Leero nze wuwo wekka; Omusaayi gwo gunnaazizza, Yesu Mwana gw'endiga Tukutendereza,Yesu: Yesu Mwana gw'endiga; Omusaayi gwo gunnaazizza, Nkwebaza,Mulokozi. Edda nafyba bufubi Okufuna-emirembe; Leero mmaliridde ddala, Okweyabiza Yesu. Tukutendereza,Yesu: Yesu Mwana gw'endiga; Omusaayi gwo gunnaazizza, Nkwebaza,Mulokozi. Nnaababuuliranga-abantu Obulokozi bwonna, Obutali bwa kitundu Obulamba-ob'obuwa. Tukutendereza,Yesu: Yesu Mwana gw'endiga; Omusaayi gwo gunnaazizza, Nkwebaza,Mulokozi. Nnaategeezanga-ebya Yesu N'obuvuumu ne sitya; Eyanzigya mu busibe N'okuwonya-eyamponya. Tukutendereza,Yesu: Yesu Mwana gw'endiga; Omusaayi gwo gunnaazizza, Nkwebaza,Mulokozi. Neebaza-eyannunula nze; Eyamponya wa kisa! Yesu-ankuuma ansanyusa-era, Bulijjo yeebazibwe. Tukutendereza,Yesu: Yesu Mwana gw'endiga; Omusaayi gwo gunnaazizza, Nkwebaza,Mulokozi.