Return to Index

177

178

NNAATEEKANGA ku Yesu Omwana gw'endiga

179
SongInstrumental
	

NNAATEEKANGA ku Yesu Omwana gw'endiga, Ebibi byange byonna ebitasinika; Agwetisse ye yekka omugugu gwange: Ka ntambule n'essanyu,kubanga-agwetisse, Yatwala ennaku zange n'ebibi bingi nnyo, Yatwala-,Omulokozi,endwadde z'omyoyo: Ne nfuna n'emirembe mu linnya lya Yesu; Ayagala nga Yesu,Mukama aluwa? Yesu Mukama wange,Yesu Mulokozi; Erinnya lyo lisinga gonna ag'omu nsi. Erinnya lyo liwooma,lireeta-essanyu nnyo: Tewali alokoka-,awatali linnya aluwa? Nze njagala-okubeera n'omwoyo-omuwombeefu; -Okufaanana nga Yesu omutuuukirivu: Nze njagala-okutuula mu ggulu ne Yesu, -Okuyiga-ennyimba-ennungi-eza bamalayika