Return to Index

17

18

BEERA nange obudde buzibye;

19
SongInstrumental
	

1 BEERA nange,obudde buzibye; Enzikiza-ekwata,beera nange: Sirina nze mubeezi mulala, Ggwe-abeera-abanaku,nange mbeera. 2 Obudde bw'obulamu buziba, Bwaka katono ne buwungeera; Byonna eby'ensi bifuuka bidiba; Ggwe-atadiba-,atafuuka,tondeka. 3 Nkwetaaga ggwe-emisana n'ekiro; Kisa kyo kyokka Ssetaani ky'atya; Katonda wange, bwe bijja-ebire; -Omusana bwe gwaka,beera nange. 4 Siriiko kye ntya,Yesu nga wooli; Beera nange ne mpangula-ebibi; Owoomesa-amaziga n'ennaku: Entaana nnafu,n'okufa kufu. 5 Nze bwe ndiba nga naatera-okufa: Omasemasenga mu nzikiza: Ondowoozese-essanyu n'engule: Mu bulamu, mu kufa,tondeka