Return to Index

18

19

MULOKOZI waffe gwe twagala

20
SongInstrumental
	

1 MULOKOZI waffe gwe twagala, Tuyimiridde okusuuta ggwe: Tukwegayiridde tusiibule, N'emirembe,nga tufukamidde. 2 Tuwerekere n'emirembe gyo, Tubeere naawe,nga bwe twakedde; Tukuumenga,tuleme-okwonoona, Ffe abasabidde mu nnyumba yo. 3 Tuwe-emirembe,Mukama waffe Mu budde bw'ekiro-otumulise: Tukuume lwa kisa ffe-abaana bo: Enzikiza gwe musana gy'oli. 4 Tuwe-emirembe buli lunaku Lwe tuteganyizibwa eby'ensi; Gitujjuze,era bwe tulifa Tuwe-emirembe egitakoma.