Return to Index

19

20

OLUNAKU lwaffe luno

21
SongInstrumental
	

1 OLUNAKU lwaffe luno, Kaakano luweddeko, Enkya twebazizza Yesu, Tumusuute-era-ekiro. 2 Naye wano nga buzibye, Awalala bukedde, Buli ssawa wanaabeera Abasuuta-erinnya lye. 3 Omusaana nga bwe gujja Mu nsi-ezitali zimu Nga gwetooloola-olukalu, Nga gugoba-enzikiza. 4 Bwe kutyo-okutendereza Okw'abaana bo leero, Tekusirika mu bantu, Tekukoma n'akamu. 5 Ffe tugenda okwebaka, Naye baganda baffe Baakazuukuka-awalala, Balyoke bakwebaze. 6 -Obwakabaka bwo, Mukama, Tebugenda kuggwaawo; Bulibuna mu mawanga, Ne bufuga-ensi zonna.