Return to Index

179

180

YESU eyakubibwa-edda

181
SongInstrumental
	

YESU eyakubibwa-edda, -Era eyafa ku lwaffe; Laba-amaanyi n'ekitiibwa Leero bwe bifaananye. Ggwe mukulu,ggwe Kabaka, Eyafiirira fenna. Mulabe Yesu bw'ajja ng'ayambadde- Ekitiibwa kye; Ye ng'amaze okusinga Abalabe be bonna. Ggwe mukulu,ggwe Kabaka, Eyafiirira fenna. Eyalaba-ennaku-ennyingi, Edda eyakaaba-ennyo; Mulabe n'essanyu lingi Bw'amasamasa leero. Ggwe mukulu,ggwe Kabaka, Eyafiirira fenna. Kabaka wa bakabaka, Alifuga-ensi zonna; Abantu bonna-ab'oku nsi Balimuvuunamira. Ggwe mukulu,ggwe Kabaka, Eyafiirira fenna. Kale bulijjo enjiri, Bonna tubabuulire; Ayanguwe-ajje n'ebire, Alye-obwakabaka bwe. Ggwe mukulu,ggwe Kabaka, Eyafiirira fenna.