Return to Index

180

181

GGWE eyantnda-olw'a-okwagala kwo

182
SongInstrumental
	

GGWE eyantnda-olw'a-okwagala kwo Leka nze ntwale ku kifaananyi kyo; Ggwe era-eyannonya ku lwa-ekisa Newankubadde nga nkyamye-ewala; Ggw(e) ayitiibwa wekka nti kwagala; Leka neeweeyo mbeeren(ga) owuwo. Ggwe-eyazaalibwa,n'ofuuka-omuntu Mu ngeri yaffe,awatali kibi; N'olyoka-otulokola ffe-abantu, Ng'ofumitibwa, n'otufiirira. Ggw(e) ayitiibwa wekka nti kwagala; Leka neeweeyo mbeeren(ga) owuwo. Ggwe-eyakkiriza,nga weewombeese, Okunkwanira ddala-obutandeka, Ggwe-alina wekka-obuyinza bwonna, Okuumire ddala-omunafu wo. Ggw(e) ayitiibwa wekka nti kwagala; Leka neeweeyo mbeeren(ga) owuwo. Ggwe-eyansuubiza olw'obwesigwa, Nti ng'omaze-okufa ndikuzuukiza; Ggwe-afuga wekka ebintu byonna, -Eby'omu nsi muno, n'eby'omu ggulu. Ggw(e) ayitiibwa wekka nti kwagala; Leka neeweeyo mbeeren(ga) owuwo.