Return to Index
181 |
182
YESU Mwana w'omuntu!
|
183 |
Song | Instrumental |
|
|
YESU,Mwana w'omuntu!
Ggwe-,eyajja mu nsi muno
N'ofuuka-omwana-omuto,
Ku lw'okwagala-okungi.
Kka,-Omulokozi wange!
Tuula mu mwoyo gwange.
Yesu,Omwana gw'endiga!
Ggwe-eyagumiikiriza,
-Ennaku ezitalabwa
N'obulumi n'okufa.
Kka,-Omulokozi wange!
Tuula mu mwoyo gwange.
Ggwe Mukama w'obulamu!
Ggwe-eyawangula-okufa,
Ggwe-eyalinnya muggulu
-Olw'obuyinza bwo bwokka,
Kka,-Omulokozi wange!
Tuula mu mwoyo gwange.
Katonda-era Omuntu!
Ggwe Mukama-ow'eggulu
Tukuza-omwoyo gwange,
-Olw'ekisa-onjigirize.
Ndyoke mpeebwe-omukisa
Ntuule naawe mu ggulu.