Return to Index

182

183

YESU -obuyinike bwaffe

184
SongInstrumental
	

YESU,-obuyinike bwaffe Wabwetikka wekka, N'ositula-ennaku zaffe, Ezitukooyesa. Ffe-abatasaanidde n'akamu- Bye watukolera. Okufa n'ekikolimo Ebyanditusse ffe, Wawangula-amaayi gaabyo, N'obibetenta-era, Kaakano tuli ba ddembe, Abandisibiddwa. -Embuyaga n'empewo-ennyingi Byakuntira ku ggwe, Katonda ye yakuba ggwe, Alyoke-ansaasire. Kaakano tweggama mu ggwe, Ng'otusiikiriza. Fenna twawaba ng'endiga Ezisaasaanye-ennyo, Katonda n'akuteekako Omusango gwaffe. Wawaayo obulamu bwo Olw'ebibi byaffe.