Return to Index

184

185

ETTENDO lingi mu ggulu

186
SongInstrumental
	

-ETTENDO lingi mu ggulu, Basuuta nnyo Katonda; Olw'ekiragiro kyo Byonna lwe byatondebwa. -Oluyimba-olukulu-ennyo Lwayimbibwa mu ttumbi -Olwa Kabaka-omuwere Lwe yazaalibwa mu nsi Eggulu era n'ensi Lwe birisangulibwa, Walirabika-ebiggya, Balimutendereza. Ffe fekka tusirike Okutuusa lw'alijja? Nedda,Ekkanisa ye Ejja kutendereza. Abatukuvu bonna, Balijaguza ddala; Batandikira mu nsi Ne mu ggulu basuuta. Ennyimba ez'ettendo, Zikusuute,Kitaffe; Naawe Yesu Omwana, N'Omwoyo-Omutukuvu.