Return to Index
Song | Instrumental |
|
|
MUKAMA twagala,
Ekifo mw'obeera,
Kye kitusanyusa
Okukijjukira.
Ye nnyumba yo ddala
Mwe tukumgaanira,
-Otusembeze gy'oli
Abazze-okusaba
Gye babatiriza
Abava mu kibi;
Wonna watukuvu,
Kye kifo-ekirungi.
We wali-emmeeza yo,
Gye tulira naawe
N'owa-abakwagala
-Emmere y'obulamu.
Bwe batubuulira
Ebyawandiikibwa;
Ennaku ziggwaawo,
Tubeera n'essanyu.
Ennyimba-entukuvu
ziwoomesa-ennaku;
Ziyimusa-emyoyo,
Tubeera n'amaanyi.
Otuwe-ekisa kyo
-Okukwagala mu nsi,
Era ne mu ggulu
Okukusuutanga