202 |
203ENDAGAANO-entukuvu |
204 |
Song | Instrumental |
ENDAGAANO-entukuvu, Gye njagalira ddala, Byonna bye neetaaga nze, Birabikira mu yo. Omwoyo-Omutukuvu, Yagiwandiisa edda; Teyagunjibwa bantu, Kyenaavanga ngyesiga. Bwe nkyama enkomyawo, Bwemba ngwa ennyimusa, Bwe siraba mu kkubo, Eba gye ndi-omusana. Mu nnaku ensanyusa Yesu ng'anjigiriza, Era-ewoomesa gye ndi Obulamu,n'okufa.