Return to Index
Song | Instrumental |
|
|
JJANGU! Kola.
Ayinza-ani leero okugayaala,
Ebikungulwa bingi byengedde;
Wulira Yesu ng'akuyita nti:
Jjangu1 Kola
Jjangu! Kola.
Kino kitiibwa kyaffe ky'atuwa:
Bamalayika tabakkiriza
-Okubuulira nti-Obwakabaka bwe
Busembedde.
Jjangu! Kola.
Mu nnimiro eno-eya Katonda
Mulimu-ebbanga ddene mwebali
Abantu bangi abatamanyi
Mulokozi.
Jjangu! Kola.
Omulabe waffe anyiikira
Okuggyamu-esingo-ennungi bulijjo
N'okusigamu ez'omu nsiko,
Nga twebase.
Jjangu! Kola
Situla-ekikoligo kye-ekyangu;
Bw'ogumiikiriza alikuwa
Empeera-ennungi n'essanyu lingi,
Mukama wo