Return to Index

204

205

AYI Yesu nkwegayyiridde

206
SongInstrumental
	

AYI Yesu nkwegayyiridde, Okunjigiriza wekka; Kaakano mbuulire-abantu Abali mu kizikiza. Bwe nnali nkyali mu bibi, Wampita okujja gy'oli N'osasula-ebbanja lyange N'ompa-obulamu bwa buwa. Ku lw'ekisa kyo ekingi Ombeere leero-omuddu wo; Nkole by'oyagala byonna, Mgende gy'ondagira yonna. Ayi Yesu,nkwegayiridde, Okunnongoosa-eby'omunda, Mbeere-ekibya-ekisaanira Mukama-okumuweereza. Onjijuze Omwoyo wo, N'essanyu eriva gy'oli Abantu bakuwulire, Ne balyoka bakwesiga. Onnyweze ,nneme-okwekuba Ku nkonge-ennyingi-eziriwo; Bannange ndyoke mboolese -Obuyinza bwo nga bwe buli. Ompummuzenga bulijjo, Nneme-okweraliikirira; Bannange mbategeezenga Bw'owummuza abakooye. Bwe ntyo ka nkugulumize Mu maaso g'abantu bonna; Bo balyoke bajje gy'oli, Nga bafuuse abaana bo