Return to Index

205

206

KU lwange ne ku lw'enjiri

207
SongInstrumental
	

KU lwange ne ku lw'enjiri, Mugende baana bange: Ne baddamu Ka tugende; -Ekitiibwa kibe gy'oli, Yajja-okufiirira abantu, Kitaawe ng'amutuma: N'amalawo-ebibi byaffe, Ggwe-okufa tokyaluma. -Amakondere ga Jjubiri, Gavuga mu nsi zonna: Gategeeza-obulokozi Eri-amawanga gonna. Ssetaani n'obuyinza bwe, Binaatera-okuggwaawo: Obwakabaka bwa Yesu, Bujja,obutavaawo. Kale bannange,twesibe, Tulwane nnyo masajja: Tuleme okugayaala, Mukama waffe ajja. Laba emmambya esaze, -Ekizikiza kidduka; Kusembedde-okuwummula, Tunaatera-okunnyuka. Naye wakyasigaddeyo Okulwana-ekiseera, Tulyoke tugende gy'ali Tugabirwe empeera. Weewaawo,nze njija mangu, Okufuga-ensi zonna. Amiina tuddamu Jjangu, Mukama waffe Yesu.