Return to Index

206

207

MUGENDE mu nsi zonna

208
SongInstrumental
	

1 MUGENDE mu nsi zonna, Mubuulire-Enjiri Eri-amawanga gonna Agabeera mu nsi, Balyoke bategeere Yesu gwe tusinza Bw'ali Katonda ddala, Bw'alokola bonna. 2 Mukama waffe Yesu -Otunyiikize fenna Tukolerenga ddala Ebitusaanira; Tweweeyo gy'oli leero -Emibiri n'emyoyo Tuleetenga-ebirabo N'essanyu lingi nnyo 3 Okugaba kwa mukisa -Okusinga-Okutoola Byonna bye tuli nabyo Biva-eri Katonda; Otukkirizise-ebyo, Tukwegayiridde Tuleme okugamba nti Bye byaffe ku bwaffe. 4 Ayi Katonda Kitaffe, Oyimuse mu ffe Abakunguzi-abangi, Balyoke bagende Banyiikirenga wonna -Okubunya-Enjiri yo, Babuulirenga bonna, -Abakulu n'abato 5 Yesu Mukama waffe, -Otuwe ku maanyi go, Tukwatirenga ddala Empisa-ennungi-ennyo Tuleme-okugayaala, Naye tufube nnyo Mu mirimu gyo gyonna Olw'omukisa gwo.