Return to Index

209

210

BULI muntu yenna awulire

211
SongInstrumental
	

1 BULI muntu yenna awulire Ebigambo by'Omulokozi w'ensi, Bunya wonna wonna nti Akkiriza Alirokoka mu ye. Mujje nno gye ndi abakooy(e) ennyo Mulyoke muwummulenga n'essanyu. Buli muntu ajja naamwaniriza, Siimugobere bweru. 2 Buli muntu yenna asembere Oluggi lw'omu ggulu lugguddwaawo, Yesu ge mazima,lye kkubo lyaffe; Ekibalwisa kiki? Mujje nno gye ndi abakooy(e) ennyo Mulyoke muwummulenga n'essanyu. Buli muntu ajja naamwaniriza, Siimugobere bweru. 3 Buli muntu yenna amwagala Kye kigambo kya Katonda-atalimba; Kale bannange,tubunye-ettendo lye, Atugabidde buwa. Mujje nno gye ndi abakooy(e) ennyo Mulyoke muwummulenga n'essanyu. Buli muntu ajja naamwaniriza, Siimugobere bweru.