Return to Index

211

212

BULIJJO tumusuutenga

213
SongInstrumental
	

1 BULIJJO tumusuutenga Mukama waffe Yesu, Tumwebaze-olw'okukuuma Kw'akuumye-Ekkanisa ye Okuva mu nnaku ezo, -Enjiri bwe yaleetebwa, Mu nsi yaffe y'e Uganda N'eyigganyizibwa nnyo. 2 Bulijjo tukitendenga, Ekitiibwa kye kyokka Bw'abawangudde-abalabe Ab'amaanyi-,ab'entiisa; Tugobererenga abo Abaasooka-okutiibwa Ne batamwegaana Yesu, Mu nnimi z'omuliro. 3 Bulijjo ka twewengayo Yesu-okumuweereza; Okusooka-emyoyo gyaffe Gifuuke nga ssaddaaka; Ate tumutonerenga, -Ebintu,n'abaana baffe Atuggyemu obukodo, Atuwe ku ssanyu lye. 4 Bulijjo twewombeekenga, Tusabenga Mukama Atuggyemu obunafu, Agabenga-Omwoyo we; Mu mawanga-agaliraana -Ensi yaffe-enjuyi zonna, Ebika bikkirizenga, -Eddiini ebune mu-Africa. 5 Bulijjo tweyongerenga Yesu-okumufaanana, Tuyige-okutuukiriza -Empisa z'obuwombeefu Nga tusuubira-okujja kwe, Nga tumwesiga yekka; Nga tukola,nga tusuuta, Nga tumulindirira