Return to Index
212 |
213
MMWE-ensozi-empanvu-ennyo
|
214 |
Song | Instrumental |
|
|
1 MMWE-ensozi-empanvu-ennyo,
Mujaguze mwenna!
-Ensenyi n'ebiwonvu,
Mumutendereze.
Muwulire-eddoboozi lye
Libuulira-eby'okujja kwe.
2 Kale mmwe-ebizinga
Ebiri mu nnyanja;
Empewo-ennyingi-ennyo
Zikuntira ku mmwe;
Zirongoosa ekkubo lye
Kabaka ow'ekitiibwa.
3 Mmwe-amawanga mwenna,
Muzuukuke mangu;
-Abantu bammwe bonna
Beefunire-eddembe
Ery'Omwana wa Katonda
Ly'abaleetera kaakano.
4 Amawanga gonna
Agali-ewala ennyo,
Agatamanyanga
Mulokozi w'ensi;
Kale,mwenna mujje gy'ali,
Oyo eyakomererwa.
5 Mwenna muyimbe nnyo,
Nga mugenda gy'ali;
Mwenna mukumgaane
-Okuva mu nsi zonna;
Tuyingire mu kibuga,
Ekyaffe,-eky'olubeerera.