Return to Index

214

215

OLWAZI kwe yazimba Katonda-Ekkanisa

216
SongInstrumental
	

1 OLWAZI kwe yazimba Katonda-Ekkanisa, Ye Mulokozi waffe eyagitukuza, -Olwamazzi n'ekigambo-,okuba-omugole we; N'ava mu ggulu,n'akka ku nsi,erokoke. 2 Abantu bonna-ab'ensi bayingira omwo, Kyebava bagiyita yokka-Ebuna wonna; Eyatula Mukama omu n'ekkiriza, -Ekigambo kye, n'etoola emmere-emu yokka. 3 Leero newankubadde enyoomebwa-abantu, Olw'obukyamu bwamu,n'olw'okwesalamu; -Abatukuvu beekuuma nga bakukaabira, Olijja ddi Mukama? tukulindirira. 4 Mu mitawaana gyayo, mu ntalo n'obwowe, -Emirembe gya Katonda gyo gy'erindiridde; Terirema kuweebwa bye yagisuubiza, Ekkanisa erwana n'eryoka-ewummula. 5 Yagattibwa-era ku nsi ne Katonda waffe, N'esseekimu mu mwoyo n'abo abeebaka, Baweereddwa n'essanyu;Yesu otuwe ffe, -Okubeeranga mu ggulu nga bo-awamu naawe.