1 WALIWO-ensi esinga-eno,
Nga nnungi! nga nnungi!
Tetuukayo kibi kyonna,
Ensi-eyo,nga nnungi!
Tulikuba ennanga-empya,
Wamu ne bamalayika,
Ennanga zaabwe za zaabu:
Ensi-eyo,nga nnungi!
2 Mbu teri bire ku ggulu,
Ensi-eyo,nga nnungi!
Teri nnaku na kukaba,
Ensi-eyo,nga nnungi!
Banywa mu luzzi-olw'ekisa
Ne balaba-Omulokozi
Amaaso ge gwe musana;
Ensi eyo,nga nnungi!
3 Newankubadde nga fenna
Tujjudde ekibi,
Naye Yesu yakkiriza
Okufa,ku lwaffe!
Tulitukuzibwa fenna
Olw'omusaayi gwa Yesu,
Tulifuga wamu naye,
Mu nsi-eyo ennungi.