Return to Index
Song | Instrumental |
|
|
1 SAAYUUNI mu ggulu,
Katonda gy'abeera;
Bwe ndifa,ndigenda
N'essanyu lingi nnyo.
Katonda wang(e),eyo gy'oli
Ndituuka dd(i) okukulaba?
2 -Omulokozi gy'ali,
Gwe baayigganyanga;
Ne bamalayika
Bayimba-ettendo lye.
Katonda wang(e),eyo gy'oli
Ndituuka dd(i) okukulaba?
3 Ab'edda baali-eyo,
Baakomekkereza
Emgendo Zaabwe,era
Baalaba Mukama.
Katonda wang(e),eyo gy'oli
Ndituuka dd(i) okukulaba?
4 Eri n'abatume
Gye balabikira;
Bonna-abamwesiga,
Nga bakuba-ennanga
Katonda wang(e),eyo gy'oli
Ndituuka dd(i) okukulaba?
5 Era-abajulirwa
-Abaalangibwa Yesu,
-Era abamwesiga
Eyabalokola.
Katonda wang(e),eyo gy'oli
Ndituuka dd(i) okukulaba?