Return to Index

231

232

OBULAMU bwaffe buno

233
SongInstrumental
	

1 -OBULAMU bwaffe buno Bujjudde nnyo-ennaku; Naye obw'ensi eyo Bwa ssanyu jjereere. 2 N'entalo-eza kaakano Za ntiisa bulijjo, -Omulabe waffe-ow'edda Wa maanyi mangi nnyo. 3 Naye Omubeezi waffe Asingira ddala; Era-abamwesiga ye Be baliwangula. 4 Fenna kyetunaavanga Tunyiikira nnyini; Kubanga tumanyi nti: Ye-alituwummuza. 5 -Ekiseera si kinene Ekirimu-akabi, Ne tulyoka tutuuka Awali Katonda. 6 Obudde bwe bulikya Enzikiza n'eggwa, Yesu Musana gwaffe Aliba-atwakidde