1 MU kibuga kya Katonda,
Nga guva mu ntebe ye,
Waliwo-omugga-omulungi
Ogw'amazzi ag'obulamu.
Abatukuvu ba Yesu
Bagusanyukirako:
Naffe twagal(a) okutuka
Ku mabbali g'omugga guli.
2 Yesu Omusumba waffe
Anatulumggamyanga,
Mu ddundiro ly'okwesiima
Eririraanye-omugga guli
Abatukuvu ba Yesu
Bagusanyukirako:
Naffe twagal(a) okutuka
Ku mabbali g'omugga guli.
3 Naye nga tetunnatuuka
Awali-omugga guli,
Otutikkule-emigugu
Egy'ennaku era n'ebibi.
Abatukuvu ba Yesu
Bagusanyukirako:
Naffe twagal(a) okutuka
Ku mabbali g'omugga guli.
4 Olugendo lwaffe luno
Lwa nnaku si nnyingi nnyo:
Ffe tetulirwa kutuuka,
Okwetaba n'abantu bali
Abatukuvu ba Yesu
Bagusanyukirako:
Naffe twagal(a) okutuka
Ku mabbali g'omugga guli.