1 BWE tusiibula-abantu
Mu nsi,tulaba-ennaku:
so nga-,eri mu ggulu,
Walibeer(a) essanyu,
Ssanyu,ssanyu,ssanyu:
Walibeer(a) essanyu,
Nga tetukyasiibula.
2 Bonna-abaagala Yesu
Bonna balikumggaana,
Obutasiibula.
Walibeer(a) essanyu,
Ssanyu,ssanyu,ssanyu:
Walibeer(a) essanyu,
Nga tetukyasiibula.
3 Tulibeera n'essanyu
Bwe tuliraba Yesu
-Omulokozi waffe.
Walibeer(a) essanyu,
Ssanyu,ssanyu,ssanyu:
Walibeer(a) essanyu,
Nga tetukyasiibula.
4 Mu ggulu tuliyimba
Amatendo ga Yesu
Emirembe gyonna.
Walibeer(a) essanyu,
Ssanyu,ssanyu,ssanyu:
Walibeer(a) essanyu,
Nga tetukyasiibula.