1 -OMUZIBE w'amaaso edda
Eyali ng'asabiriza
N'awulira-abantu bangi
N'ababuuza nti Ekyo ki?
Bonna ne bamubuulira,
Yesu Omunazaaleesi.
2 Kiki ekimuyinzisa
Okubavumula bonna?
Si ye mugenyi bugenyi?
Ekibamwagaza kiki?
Laba bwe bayogerera
Waggulu: Yesu ayita.
3 Yesu ye wuuyo eyava
Mu ggulu,okulokola
Abalina-ebibi,n'abo
Abazitoowereddwa-ennyo.
Bali kyebava boogera
Yesu Omunazaaleesi.
4 Bannange mu nnaku zino
Yesu atuyita fenna,
Ng'abuulira abantu be
-Ebirabo by'abaleetedde.
Tewali n'omu-amwenkana
Yesu Omunazaaleesi.
5 Naye bwe muba munyooma
Ekisa-ekitenkanika
Ennaku ziribasanga
Yesu bw'alibagamba nti:
Muve we ndi aboonoonyi,
-Ekiseera kyammwe kyayita