Return to Index

237

238

JJANGU munnange owulire-enjiri

239
SongInstrumental
	

1 JJANGU munnange owulire-enjiri Y'okwagala kwa Yesu, Bwe yaleka ennyumba y'ekitiibwa N'ebintu byonna eby'essanyu, Yesu yafa,Yesu yatufiirira. 2 Ffe fenna tulina ebibi, Katonda atunuulira, Ebyonoono byaffe abimanyi byonna, Ye wa kisa yatutumira Yesu. 3 Ababi abaamukyawa Yesu, Baamuwanika ku muti, Naye okufa kwe kutuwa eddembe, Okuva mu musango-omubi. 4 Kale omulenzi,ne mwannyina, Mukkirize kaakano Yesu; Tewali bulokozi mu mulala, Mu nsi zonna oba mu ggulu