Return to Index

238

239

MWOYO gwange wulira

240
SongInstrumental
	

1 MWOYO gwange,wulira, Yesu Mulokozi wo; Akubuuza ggwe bw'ati: Mwana wange-onjagala? 2 Nze nakuggya mu nvuba; Ne nnyiga-ebiwundu byo; Ne nkuzuula ng'obuze; Ne nzibula-amaaso go. 3 Nnyina ki-atajjukira Bulijjo omwana we? Ye yeerabira-omwana: Naye siirekenga ggwe. 4 Bulijjo nze nkwagala; Naabeeranga naawe nze; Mu bulamu, mu kufa, Mu magombe,mu ggulu. 5 Bwe ndiba nkuwonyezza Oliraba-ettendo-eryo; Oliba wamu nange; Mwana wange-,onjagala? 6 Mulokozi,gunsinze; Nnali nga sikwagala: Naye leero mpa ekisa, Nnyongere kukwagala.