Return to Index

239

240

WULIRA mu luyoogaano

241
SongInstrumental
	

1 WULIRA mu luyoogaano Eddoboozi lya Yesu, Bw'akuyita omunaku Okumugoberera. 2 Nga basuula obutimba Mu nnyanja-abatume be, Yabayita ng'abagamba Bw'ati:Muyite nange. 3 Bo ne balekawo mangu Obutimba,ne bajja, Bwe baawulira-eddoboozi Erya Yesu ntiMujje. 4 Bw'atyo Yesu bw'atuyita Okuleka-ebyonoono, Era n'okutambulanga Mu makubo g'obulamu-. 5 Mu ssanyu era mu nnaku, Mu ndwadde ne mu bulamu-; Tukyawulira-eddoboozi Ly'Omulokozi waffe. 6 Mwana wange tosuulanga Bye nkugabira buwa, Laba bwe nnafiirira ggwe, Mpa-omutima gwo gwonna