Return to Index
241 |
242
MUJJE-eri Yesu temulwawo
|
243 |
Song | Instrumental |
|
|
1 MUJJE-eri Yesu,temulwawo,
Atudde mu ffe wano leero,
Fenna-atuyita-okusembera;
AyogeraMujje.
Ye atwagala,atwagala;
Ye atwagala aboonoonyi;
Era yajj(a) okutufiirira,
Ffe tutuuke gy'oli.
2 Mujje abazitoowereddwa,
Mwenna abakooye n'ebibi:
Mujje mwenna naabawummuza
Mujje mwenna gye ndi.
Ye atwagala,atwagala;
Ye atwagala aboonoonyi;
Era yajj(a) okutufiirira,
Ffe tutuuke gy'oli.
3 Abantu bonna kiyinzika
Leero-okusonyiyrwa ddala;
Kuba-ebibi by'abakkiriza
Byatwalibwa Yesu.
Ye atwagala,atwagala;
Ye atwagala aboonoonyi;
Era yajj(a) okutufiirira,
Ffe tutuuke gy'oli.