Return to Index

242

243

MUJJE mwenna-abakooye

244
SongInstrumental
	

1 MUJJE mwenna-abakooye Nze naabawummuza: -Eddoboozi nga lya kisa Ery'Omulokozi: Litutegeeza bw'ali Ow'ekisa kyonna, Bw'ayagala-okuwonya Emyoyo gy'abantu 2 Mujje mwenna-abakyamye Nze naabamulisa: -Eddoboozi nga lya ssanyu Mu nzikiza-ekutte. Mu nsiko ey'omu nsi Twali tuwabye nnyo, Mu kkubo lye yatuzza, Ffe ne tusanyuka 3 Mujje mwenna-abafudde Naabawa obulamu-: -Eddoboozi lye lya manyi, Lituzzaamu-omwoyo. Entalo zaffe nzibu; -Omulabe mukambwe; Amaanyi g'okulwana Gava eri Yesu. 4 Era-anajjanga gye ndi Nze siimugobenga: -Eddoboozi lya Mukama Lye litugumya-ennyo: Ekisa-ekyenkanaawo Tewali-asaanidde, Ye ye-atusembezezza Kale tumwebaze