Return to Index
244 |
245
MUJJE mwenna mujje gye ndi
|
246 |
Song | Instrumental |
|
|
1 MUJJE mwenna,mujje gye ndi
Abakooye-ennyo.
Yesu bwe yagamba bw'atyo
Ab'omu nsi.
2 Yesu mumunoonya? Nedda
Ye-abanoonya mmwe;
Temweteekateeka,mujje
Nga bwe muli.
3 Mumuganye,munaalaba
Bw'anaabakola;
Anaabawonyanga-endwadde
Ez'omwoyo.
4 Omusango gwabasinga?
Abasonyiwa;
Abaggyako-abantu bonna
Ebyonoono
5 Ekisa kye mukigaanyi?
Temukkiriza?
Temumuganya kugenda
Nga-asaaliddwa.
6 Oba-ennaku zammwe nnyingi?
Era mukooye?
Mumwanirize Mukama,
Muwummule.