Return to Index

245

246

MUJJE mwenna abakooye

247
SongInstrumental
	

1 MUJJE mwenna abakooye N'okutegana kw'ensi, Yesu ye-anaabaaniriza N'okusaasira-okungi. Mujje mwenna! Abayita temutya. 2 Temutya,newankubadde Ng'ebibi byammwe bingi. Ky'abakuutira kye kino- Mwenenye musonyiyibwe; Omwoyo we Ye anaabatukuza. 3 Laba! Omwana wa Katonda Leero-abawolereza, Lwa musaayi-gwe munaawona Bwe mwesigira ddala: Ekisa kye Ekirokola kyokka. 4 Abatukuvu be bonna Bamusinza n'essanyu; Ab'ensi n'ab'omu ggulu Bayimba-amatendo ge: Aleruuya! Yesu Omulokozi.