1 OMBUULIRE ku kisa eky'Omulokozi,
Ye nga bwe yafaanana,bw'alina-obulungi,
Yesu-eyatununula,eyatufiirira;
Nnali mgenda-okubula,Yesu n'andokola.
Ombuulire ku kisa,ombuulire ku kisa,
Ombuulire ku kisa eky'Omulokozi.
2 Ombuulireko-empola ye bw'alina-ekisa
Ekitakomezeka,Yesu ng'atwagala,
Yabonyaabonyezebwa Laba-okwagala kwe
Ababi ne baweebwa obutukuvu bwe.
Ombuulire ku kisa,ombuulire ku kisa,
Ombuulire ku kisa eky'Omulokozi.
3 Ombuulire-ekitiibwa ky'alibeera nakyo,
Bw'alikomawo ku nsi,kwe yakomererwa.
Ye alijja n'ebire,ne bamalayika,
Abeesigwa be bonna ne balinnya naye
Ombuulire ku kisa,ombuulire ku kisa,
Ombuulire ku kisa eky'Omulokozi.