Return to Index

247

248

ENZIKIZA yali ebunye ku nsi

249
SongInstrumental
	

1 ENZIKIZA yali ebunye ku nsi, Yesu gwe musana gw'ensi: Okwaka kwe kungi ne kwaka mu ye; Yesu gwe musana gw'ensi Jjangu,laba,gukwakidde ggwe; gumpoomera nze,gunsanyusa, Nnali muzibe,leero ndaba Yesu gwe musana gw'ensi. 2 Abeera mu ye taba mu nzikiza, Yesu gwe musana gw'ensi, Tumugoberere-omusana gwake Yesu gwe musana gw'ensi, Jjangu,laba,gukwakidde ggwe; gumpoomera nze,gunsanyusa, Nnali muzibe,leero ndaba Yesu gwe musana gw'ensi. 3 Abazibe b'amaaso ab'enzikiza; Yesu gwe musana gw'ensi; Mugende munaabe,munaazibuka; Yesu gwe musana gw'ensi. Jjangu,laba,gukwakidde ggwe; gumpoomera nze,gunsanyusa, Nnali muzibe,leero ndaba Yesu gwe musana gw'ensi. 4 Mu ggulu,tusoma,teri musana, Yesu gwe musana gwayo, Yesu gwe musana ogwakirayo, Yesu gwe musana gwayo. Jjangu,laba,gukwakidde ggwe; gumpoomera nze,gunsanyusa, Nnali muzibe,leero ndaba Yesu gwe musana gw'ensi.