Return to Index

248

249

BWE nnali nga neebakidde ddala

250
SongInstrumental
	

1 BWE nnali nga neebakidde ddala Mu tulo twa Ssetaani-otubi, Nze nawulira eddobbozi lya Yesu Kristo nga yeeyanjula. Kale ggulawo,ggulawo, Ggulawo,ayingire; Omwoyo gwo gunaasanyuka nnyo Yesu ng'ayingidde 2 Yesu yansembeza ku mbaga ye, Ey'okwagala okungi-ennyo. Ne nsanyuka nnyo okutegeera Obuganzi obwenkaniddaawo- Kale ggulawo,ggulawo, Ggulawo,ayingire; Omwoyo gwo gunaasanyuka nnyo Yesu ng'ayingidde 3 Bwe mbeera mu ye,siriko kye ntya; Ye ngabo,ge mafumu gange; Ge maanyi gange-agataliggwaawo Agayinza-abalabe bonna Kale ggulawo,ggulawo, Ggulawo,ayingire; Omwoyo gwo gunaasanyuka nnyo Yesu ng'ayingidde 4 Omusumba-anwala ku mabbali, Ag'amazzi ago-amateefu, Era-omwoyo gwange-agukomyawo, Nnina-essanyu-eritaliggwaawo-. Kale ggulawo,ggulawo, Ggulawo,ayingire; Omwoyo gwo gunaasanyuka nnyo Yesu ng'ayingidde