Return to Index

249

250

TEWALI mu nsi muno mulongoofu

251
SongInstrumental
	

1 TEWALI mu nsi muno mulongoofu So nga tewaliba mu ggulu, Wabula abantu be yalongoosa N'omusaayi-ogwa Yesu yekka. Munaabe mu musaa(yi),ogunaaza mmwe buli kibi; Mmwe temulitukul(a) awatali ye; Munaabe mu musaa(yi) gwa Yesu. 2 Omusaayi-gwe Yesu gubanaaze nnyo Abagwagwa ab'omu mwoyo: Kale temulwa,naye muyanguwe Okunaaza emyoyo gyammwe. Munaabe mu musaa(yi),ogunaaza mmwe buli kibi; Mmwe temulitukul(a) awatali ye; Munaabe mu musaa(yi) gwa Yesu. 3 Bw'alikomawo nate-Omulokozi N'amaanyi n'ekitiibwa kingi, Abatannanaaba baliyingira Mu mbaga y'obugole batya? Munaabe mu musaa(yi),ogunaaza mmwe buli kibi; Mmwe temulitukul(a) awatali ye; Munaabe mu musaa(yi) gwa Yesu. 4 Balitya-okulabika mu maaso ge Okutya kuliba kwereere: Naye leero muyinza-okulokoka Mu busungu bwe obulijja. Munaabe mu musaa(yi),ogunaaza mmwe buli kibi; Mmwe temulitukul(a) awatali ye; Munaabe mu musaa(yi) gwa Yesu.