Return to Index
251 |
252
MMWE mwenna abanoonya-okutuuka mu ggulu
|
253 |
Song | Instrumental |
|
|
1 MMWE mwenna abanoonya-okutuuka mu ggulu,
Mulabe ku Mukama,mubeere n'essanyu;
Tewali kkubo ddala,bwe mutayingira
Mu luggi lw'omu ggulu olwalagirirwa.
2 Oluggi olwo ye Yesu-eyatugamba nti:
Buli akkiriza nze asonyiyibwa-ebibi;
Mmwe mwenna abakooye,kale mujje gye ndi
Nammwe aboonoonyi be najja-okulokola.
3 Leero terunnaggalwa oluggi lw'eggulu;
Lukyali-awo luggule okuyingiramu.
Kale tolwa,yanguwa okuyita omwo;
Katonda-akugamba ntiKale jjangu leero.