Return to Index

252

253

TWAGALANE-; okwagala

254
SongInstrumental
	

1 TWAGALANE-; okwagala Kwe kuva-eri Katonda: Kale,ffe-abooluganda, Tube nnyo n'okwagala. Twagalanenga;twagalanenga; Twagalanenga;Katonda kwagala. 2 Twali tulina-ebibi Yesu n'afa ku muti: Oyo gwe yafiirira, Ffe tunaaakyawa tutya? Twagalanenga;twagalanenga; Twagalanenga;Katonda kwagala. 3 Bonna ffe tubaagale, Twagale-abatukyaye N'abo abalina-ebibi Twagalenga bwagazi. Twagalanenga;twagalanenga; Twagalanenga;Katonda kwagala. 4 Kale-ekisa mu myoyo Kyakenga ng'omuliro; Kyokere ddala byonna Ebitali bya kisa. Twagalanenga;twagalanenga; Twagalanenga;Katonda kwagala.