Return to Index
253 |
254
TEMUSOOKANGA kunoonya
|
255 |
Song | Instrumental |
|
|
1 TEMUSOOKANGA kunoonya
Ssanyu na bugagga bwa nsi,
Na kwesiima kwa mubiri
Biriggwaawo-,biriggwaawo-.
2 Temusookanga-kunoonya
Bwami bwa nsi na kitiibwa:
Oliba-oli-awo mangwago
Ne biggwaawo-,ne biggwaawo-.
3 Temusookanga kunoonya
Bisusunku na birerya
Ebitali bya Katonda:
Bisusunku na birerya
Ebitali bya Katonda:
Biriggwaawo-,birigwaawo-.
4 Mmwe musookenga-okunoonya
Obwakabaka bwa Katonda:
Ekisa kye-eky'ekitalo
Tekiggwaawo-,tekiggwaawo-.
5 Mmwe musookenga-okunoonya
Obulokozi bw'abantu:
Mubaleete eri Yesu;
Tebuggwaawo-,tebuggwaaawo-.
6 Ebyo bye muba munoonya,
Muliweeebwa bye yagamba:,
Muliweebwa-eby'omu ggulu
Tebiggwaawo-,tebiggwaawo-.