Return to Index

254

255

MU nsi y'abagenyi

256
SongInstrumental
	

1 MU nsi y'abagenyi, Gye wagenda ggwe, Wulira-eddoboozi -Enkuyita: Komaw(o) omutambuze Komawo mangu, Ggwe wakyamira ddala, Naye jjangu. 2 Enjala-ey'omwoyo Ekuluma nnyo Tolina mukwano, Oli muyi. Komaw(o) omutambuze Komawo mangu, Ggwe wakyamira ddala, Naye jjangu. 3 Ebibi byo byonna Lekera ddala, Gye ndi kye kitiibwa, N'essanyu nnyo. Komaw(o) omutambuze Komawo mangu, Ggwe wakyamira ddala, Naye jjangu. 4 Oluggi luggule, Okyali wange, Tojja kugobebwa, Siikunyoome. Komaw(o) omutambuze Komawo mangu, Ggwe wakyamira ddala, Naye jjangu. 5 Byonna bye wakola, Nnakusonyiwa, Nnakusonyiwa, Nnawaayo-obulamu Ne mbiriwa. Komaw(o) omutambuze Komawo mangu, Ggwe wakyamira ddala, Naye jjangu. 6 Laba-emmeza yange Etegekeddwa, Jjangu naakuliisa Nze-akwagala. Komaw(o) omutambuze Komawo mangu, Ggwe wakyamira ddala, Naye jjangu.