Return to Index

256

257

NZE nkutunuulidde

258
SongInstrumental
	

1 NZE nkutunuulidde N'amaaso g'omwoyo, Mulokozi. Ompulire leero, Onnaazeko-ebibi, Ontuule-omwana wo Omwesigwa. 2 Ekisa kyo kimpe, Kindeetere-amaanyi Ag'omwoyo. Ggwe eyafiirira, Onjijukizenga -Ekisa kyo bwe kiri Ekinkuuma. 3 Bwe mba nkyatambula, Mu nsi,neetooloddwa -Ebibi bingi: Naye ggwe-onsaasire Mu nzikiza muno: -Onjakize lwa kisa Omusana. 4 Era ne bwe ndiba Nga ntuusiza-okufa, Tondekanga: -Onkwatenga mu ngalo, Nneme-okukankana: Ontwale ewuwo Nga ndokose.